Desire Luzinda Appologises-Article in Luganda Courtesey of Bukedde News Crew

Desire yeetonze: “Nnejjusa engeri gye mbadde ncakala” courtesy

 Desire Luzinda n Nigerian
Desire n””Omunigeria eyamuswazizza
By JOSEPHAT SSEGUYA

DESIRE Luzinda asinzidde gy’aludde ng’asirikidde n’ategeeza bwe yejjusa obulamu bwe obw’okucakala.

Luzinda agamba nti ssinga tekwabadde kucakala, oboolyawo teyandisanze musajja mufere ng’ono gw’abadde ayita mukwano gwe, n’atuuka n’okwanika obwereere bwe mu mawulire n’emikutu emirala ebimufudde omukazi atalina kitiibwa n’akamu.

Luzinda azze acakala ne mikwano gye omuli abakazi n’abasajja. Kyokka olw’okuba omuntu w’abantu, ayaniriza buli ajja gy’ali, kumpi nga buli musajja gwe bamusanga naye bamumwagaza.

Coco Finger ne Luzinda.

Raga Dee ng’akuba Desire Luzinda akaama ku kabaga ke (Luzinda) ak’amazaalibwa ge gye buvuddeko. Luzinda tagwa bubaga

Abadde atera okwekubya nabo ebifaananyi. Olw’okubeera omuntu w’abantu, muno mwe yagwira ne ku musajja Omunigeria, Franklin Emuobor Ebenhron n’amukwana ne batuuka n’okubeera mu mukwano omuzito, alyoke amukube ebifaananyi bye yasaasaanyizza.

Mu kiwandiiko kye yafulumizza ku Lwokuna nga yeetonda (laba ku kkono), Luzinda yategeezezza nti, yali mu mukwano mungi n’omusajja oyo n’atuuka ekiseera nga takyategeera kigenda mu maaso era yejjusa okweragajjalira.

Luzinda ne Mesach Ssemakula bwe baayimba ‘Njagala kubeera naawe beibe’.

Ono si ye musajja Luzinda gw’asoose okuganza. Yazaala mu John Kaddu omwana, ate munnamagye Juma Seiko n’akaayanira omwana. Desire Luzinda agamba nti Seiko tamumanyi era tabeerangako naye mu mukwano.

Ate Seiko ye alumiriza nti omwana wa Luzinda wuwe, era ebizibu kati omuyimbi by’alimu, musaayi gw’Abasebei gwe gumulondoola.

POLIISI EYOGEDDE

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yategeezezza ku ssimu ku Lwokutaano ku makya nti, “Desire okwetonda, kiraga akkirizza nti ebifaananyi bibye. Ebintu ebimu ku bye tubadde tunoonyerezaako kwe kufuna ekigendererwa ky’ebifaananyi bino era akyogedde. Kyokka bannamateeka ba poliisi be bokka abalina okutubuulira ekiddako oluvannyuma lw’ekiwandiiko kya Desire mwe yeetondedde”.

Ebirala ku Desire Luzinda

Orlando ne Desire.

Weasle ne Desire.

EBBALUWA YA DESIRE LUZINDA
Eri abawagizi bange mwenna mu Uganda n’ensi yonna, mumanyi bulungi ebyantuukako era y’ebadde emboozi mu mawulire n’emikutu emirala nga banyumya ku bifaananyi ebyankubwa omwagalwa wange n’abisaasaanya nga simukkirizza.
Ekituufu kiri nti, ebifaananyi ebyo byankubwa ndi mu mukwano omuyitirivu. 
Era nkakasa buli muntu ku nsi alina w’atuuka mu mukwano n’afuna embeera ng’eno.
Nnabeera mu mukwano ne Franklin Emuobor Ebenhron gwe nneewa nzenna naye nga simanyi nti, ebifaananyi ebyo, lulikya n’abisaasaanya buli muntu yeerolere!
Abantu bangi naddala abaana bantwala ng’ekyokulabirako n’okwegomba bayimbe nga nze, abawagizi abanyumirwa ennyimba zange, kyokka ng’essaawa eno ebifaananyi bino bindabisa bulala.
Njagala okwetondera maama wange, muwala wange, famire yange, mikwano gyange, abawagizi n’abantu mwenna.
Nga bwe nnategeezezza, kino kyazze lwa kwesiga muntu era nnejjusa olw’okwesiga omuntu antuusizza ku bulumi obwenkana awo. Takomye ku kulaga bwereere bwange, naye ayagala kunsuulira ddala.
Abaludde nange mukimanyi nti nze siri muwemu, nneewa ekitiibwa, ndi mukozi ate ndi maama omulungi. 
Saagala bye mwalabye bikyuse endowooza zammwe gye ndi.
Nneebaza ababaddewo ku lwange ne bang’umya.
Mbakakasa nti, aboobuyinza bakola kyonna ekisoboka nfune obwenkanya mu mbeera eno. 
Mbasaba mukkirize okwetonda kwange.
 Mwebale nnyo,
 
Desire Luzinda

5 Comments Add yours

  1. Amelia Lopez says:

    At the least this is more enlightening than one of our reality Television stars, kim this?

    Joey what?

    Like

  2. Lily Cox says:

    We have a issue with the article, where can i e-mail the creator?

    Like

  3. I returned from pinterest well done on an outstanding social media promotion

    Like

  4. Inside the top five of the favourite articles, thankyou!

    Like

  5. Dylan Walker says:

    One of the outstanding items i’ve read this week.

    Like

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out /  Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out /  Change )

Connecting to %s